Amawulire

Omulamuzi Kamasanyu asimattuse abazigu

Omulamuzi Kamasanyu asimattuse abazigu

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Omulamuzi, akulira kooti ewoza emisango gyobutonde bwomu ttale nebyempulizganya ku Buganda Road, Gladys Kamasanyu wetwogerera ngali mu waada eyabalwadde abayi oba Intensive Care Unit ku ddwaliro lya IHK e Namuwongo oluvanyuma lwobulumbaganyi obwamukoleddwako.

Okusinziira ku amyuka, omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigyire, omulamuzi Kamasanyu yalumbiddwa abatamanya ngamba wano ku ssomero lya Green Hill Academy e Kibuli bweyabadde azze okumanya engeri omwana we gyeyakozeemu ebigezo byekyomusanvu.

Kigambibwa nti yakubiddwa abasajja 3 abalabika okuba nti bazze bamulondoola nagwa ku ttaka ngabakuumi bessomero bemutaasizza.

Poliisi etegezezza ng’okunonyereza bwekutandise, okuzuula ababadde emabega wekikolwa kino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *