Amawulire

Omulamuzi alagidde maama akwatibwe awe obujulizi

Omulamuzi alagidde maama akwatibwe awe obujulizi

Ivan Ssenabulya

October 14th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti enkulu mu Kampala eragidde poliisi okukwata omukazi, agambibwa nti akyagaanye okujja mu kooti okuwa obujulizi ku mwana we owemyaka 9 gwebasobyako.

Omulamuzi Jane Frances Abodo yeyasizza ekiragiro kino oluvanyuma lwoludda oluwaabi, okutegeeza nti maama Regina Nangendo mu bugenderevu agaanye okujja mu kooti okuwa obujulizi.

Omulamuzi era yalagidde nakulira essomero lya Makindye Millitary P/S okuleeta omwanaono mu kooti nga 29 Octoba ku nkomerero yo,mwezi guno awatai kulemererwa.

Oludda oluwaabi lugamba nti omusajja Majidu Mukasa owemyaka 31 yasobya ku mwana ayogerwako, nga 21 mu March wa 2017, ngomusango yagudiza mu bitundu bye Makindye mu Kampala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *