Amawulire

Omulambo gunyuluddwaayo

Ali Mivule

May 2nd, 2013

No comments

Kasese floods

Omulambo gw’omuntu gunyuluddwa mu mataba aganjadde okubuna  amayumba g’abantu mu District y’e Kasese.

Emirala ebiri gikyanoonyezebwa.

Amataba gaavudde ku mugga Nyamwamba okubooga ne gutandika okuyiwa amazzi, agaayanjalidde mayumba g’abantu abalinaanyeewo.

Okusinziira ku musasi wa dembe fm ,abantu bangi bali mu kubundabunda olw’obutabaako webeegeka luba, enguudo zibuutikiddwa mazzi nga n’entindo ezisinga zitwaliddwa amazzi.

Entambula okuva e Kasese okudda e Fortportal esanyaladde nga n’eddwaliro ly’e Kilembe eriri mu kikko likoseddwa.

River Nyamwamba esala Munisipaali y’e Kaseese ng’eva mu nsozi z’e Rwenzori n’eyiwa mu nyanja George.

Ab’ekitongole kya Red Cross Action bakyagenda mu maaso n’okuyamba abasobeddwa eka ne mu kibira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *