Amawulire

Omulalu asse omwana ow’emyaka 3

Omulalu asse omwana ow’emyaka 3

Ivan Ssenabulya

April 21st, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu disitulikiti ye Kiboga eriko omusajja gwekutte, agambibwa okubeera omulalu ngono yakakanye ku mwana omulenzi owemyaka 3 namutematema, ebintundu byomubiri nbikweka mu bitundu ebyenjawulo.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala, Racheal Kawala agambye nti omugenzi ye Charles Katongole, ngabadde mutabani wa Ronald Kasibante nga bino byabadde mu muluka gwe Degeya mu gombolola ye Nkandwa.

Omwana ono yabadde ku mulirwano ngazannya, era omusjja ono gyeyamusanze.

Maama womwana Betty Tulina, weyagendedde okukim omwana we ku mulirwano, teyamusanze, era bweyanonyezza yasanze mulambo.

Oluvanyuma omulalu bamusanze ajudde omusaayi, wabula Kawala agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *