Amawulire

Omukulu w’essomero attugibwa

Omukulu w’essomero attugibwa

Ivan Ssenabulya

August 18th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu disitulikiti y’e Ntungamo etandise okunonyereza kunfa yabadde nnyini ssomero lya Rwamabondo Town School erisangibwa mu kabuga ke Rwamabondo.

Omugenzi ategerekese nga Obadiah Magara, omutuuze w’e Kamuganga mu Rwamabondo town council.

Ono yakoma okulabwako ku lwakusatu lwa sabiiti ewedde bweyava ewaka nga agenze kusaba abengandaze bagenze okudamu okumulaba nga yattibwa omulambo gwe ne gusuulibwa mu kisiko.

Okuliraana omulambo gwe basanzewo eccupa elimu obutwa.

Addumira poliisi e Ntungamo, Damiano Katwesiime ategezeza nti omulambo gwakebegyeddwa mu ddwaliro era alipoota ya basawo eraga nti magara yatugibwa butugibwa noluvanyuma abakikola ne bamusiiga obutwa ku mumwa okwagala obuzabuza enfaaye.

Katwesiime agamba nti okunonyereza kutandise okusobola okuzuula abatemu

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *