Amawulire

Omukulu we ssomero akwatiddwa lwakubunkanya ssente zabayizi

Omukulu we ssomero akwatiddwa lwakubunkanya ssente zabayizi

Ivan Ssenabulya

October 14th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda ne Joseph Omollo       

Poliisi mu tawuni kasno ye Buwenge eriko nannyimni we ssomero gwegalidde, nga kigambibwa nti yabulankanya ssente ezabayizi aba S4, ezokwewandiisa mu kitongle kyebigezo ekya UNEB.

Omuddumizi wa poliisi mu kitundu kya Kiira North, Henry Mugarura agambye nti kino kidiridde abayizi okukeera bakole ebigezo byabwe wabula nebakokomalira awo, aba UNEB bwebategezezza nga bwebatabamanyi kubanga tebababwandiisa.

Abayizi bano bagezezzaako okwekalakaasa, wabula poliisi nebakakanya era nebabakwata.

Poliisi egamba nti okunonyereza kugenda mu maaso.

Ate mungeri yeemu poliisi ye Tororo ekunyizza omukulu we ssomero lya East Side High School mu munisipaali ye Tororo olwokulwawo okukima empapula zebigezo bya S4, bwebibadde bitandika amakya ga leero.

Francis Odwar kigambibw anti yawereza ngomulondoozi wamasomero e Tororo, okumala ebbanga okutukira ddala lwenyanyuka, neyegatta ku ssomero eryobwananyini mu 2017, ngalikulira.

Poliisi egamba nti ono okulwawo okukima ebigezi songa kinnya na mpindi ne poliisi kibaletedde okutya, nti oba waliwo kyebabadde byakyakukuta nakyo mungeri yokukoppa.

Kati omudumizi wa poliisi mu district ye Tororo Rogers Chebene agambye nti ono akimye ebigezi ku ssaawa 3 ezokumakya, ate abayizi kwebabadde balina okutandikira.

Wabula yye omukulu we ssomero agambye nti babadde byategeka ebyo abayizi byebabadde bagenda okukozesa.