Amawulire

Omukulu we ssomero abbye ssente eza UPE

Omukulu we ssomero abbye ssente eza UPE

Ivan Ssenabulya

October 8th, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Poliisi ngeri wamu nabatwala ebyenjgiriza mu district ye Lyantonde ebakanye nomuyiggo ku mukulu we ssomero agambibwa, okubulankanya ssente ze ssomero.

Fred Mbarebaki nga yakulira essomero lya Lwamawungu P/S mu district ye Lyantonde kigambibwa nti yagenda ku accounta ye ssomero najjayo ssente eziva mu gavumenti, okuwagira emirmu gye ssomero wansi wa bonna basome, nazizza ku mumwa.

Bino kigambibw anti yabikola nga 27 Septemba, omwezi ogwo oguwedde gavumenti bweyali etaddeko ssente.

Hebert Bachenga yakolanga atwala ebyenjigiriza mu district ye Lyantonde.

Omwogezi wa poliisi mu district ezikola obugazi bwe Masaka Paul Kangave akakasizza nti omuyiggo gugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *