Amawulire

Omukulembeze agenda kw’ogerako eri egwanga

Omukulembeze agenda kw’ogerako eri egwanga

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, Ritah Kemigisa, Prosy Kisakye ne Kyeyune Moses

Olwaleero palamenti egenda kuggulawo, ekitundu ekyokuna ekyantuula zaayo mu palamenti eno eyomuundi ogwe 10.

Kati ekyenjawulo omukulembeze we gwanga agenda kwogerako eri egwanga, oba State of the Nation Address, okulaga egwanga bweriyimiridde mu nsonga ezenjawulo.

Omukolo guno gugenda kutandika ku ssaawa 8, wali ku woteeri ya Serena mu Kampala.

Wabula bbo aboludda oluvuganya gavumenti bagembye nti tebasubira kyamanyi mu kwogera kwomukulembeze we gwanga, nga bagamba nti guno gwafuuka mukolo era akalombolombo.

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Betty Aol Ochan agambye nti baayisa dda, embalirira eyomwak gwebyensimbi ogujja 2019/20, eranga embaliri aeno yalaga nti ddala gavumenti tefaayo ku mbeera z’abantu okubeera obulungi.

Aol Ochan ayogedde ku nguzi gambye nti efumbekedde munda mu gavumenti era ekosa emirmu nobuwereza eri abantu, wabulanga presidenti Museveni azze abalaata nga tanalaga nkola eyanamaddala okujirwanyisa, ate nebiralala bingi ebitatambula bulungi.

Ate president wekibiina kyobufuzi ekippya Alliance for National Transformation Maj. Gen. Mugisha Muntu yye ayagla presidenti Museveni, ayogera kungeri yokwawulamu obuyinza, bwebitongole byetengere.

Ono agambye nti essiga eddamuzi ne palamenti, bityoboddwa, nga ne gwanga liri mu kabi akamaanyi.

Agambye nti enguzi efumbekedde mu ssiga eddamuzi eritekeddwa, okutuusa obwenkanya eri abantu, eremesezza egwanga okugenda mu maaso.

Yye omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze, agambye nti yye tagenda kubera mu kwogera kwomukulembeze w egwanga.

Agambye nti tayagala kubeera mu kisenge kyekimu naye, ayinza okujjukira abasirikale abamukuba kata bamutte, nakulukusa amaziga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *