Amawulire
Omukozi abbye omwana wa mukama we
ByaMalikh Fahad
Poliisi ye Kyabi mu district ye Sembabule etandise okunonyereza kungeri, yaaya gyeyabbyemu omwana wa mukama we.
Betty Alina nga mutuuze ku kyalo Kilinda mu gombolola ye Kitanda mu district ye Bukomansimbi, akwatiddwa nga kigambibwa nti yabbye omwana, aaama we Jancinta Nalubega, bweyabadde yewunguddemu, ngagenze mu nimiro.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu Lameck Kigozi akaksizza, ngomukozi ono bweyakwatiddwa mu Kabuga ke Lutunku ngadduka nomwana.
Poliisi egamba nti okunonyererza kukyagenda mu maaso.