Amawulire

Omukinjaagi bamutidde mu ntiisa

Omukinjaagi bamutidde mu ntiisa

Ivan Ssenabulya

January 8th, 2021

No comments

Bya Malikh Fahad

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Bukunda mu gombolola ye Kyanamukaka, mu distulikiti ye Masaka bwebagudde ku mulambo gwa mutuuze munaabwe.

Omugenzi ye Lawrence Bbaale Terera owemyaka 42, ngabadde mutemi wa nnyama ku kyalo Bukunda.

Okusinziira ku poliisi, omugenzi abatamanya ngamba bamuteeze nebamutta omulambo nebagusuula mu nnimiro yomutuuze omulala.

Omwogezi wa poliisi mu ttunduttundu eryobwagagavu bwe Masaka Muhamad Nsubuga agambye nti omulambo gwomugezi gusangiddwako ebiwundu ebyamaanyi.

Agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *