Amawulire

Omukazi omulala atiddwa e Nansana

Ali Mivule

July 17th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Poliisi mu Kampala ekyanonyereza ku ttemu erikutte wansi ne waggulu mu municipaali ye Nansana nga waliwo omukazi omulala atiddwa mu bukambwe olwaleero.

Ono okutibwa nga poliisi ekyanonyereza ku balala 4 abatibwa mu kitundu kino ku ntandikwa y’omwaka guno.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Assan Kasinye omugenzi amumenye nga Teddy Nakacwa omutuuze we  Nakkule zooni.

Okunonyerza okusoose kulaze nga omugenzi bweyalabiddwako nga afubutuka mu baala aamakya galeero nga era muliraanwa y’agudde ku mulambo gwe mu nyumba ye.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *