Amawulire

Omukazi azikudde emirambo najireka ku ngulu

Omukazi azikudde emirambo najireka ku ngulu

Ivan Ssenabulya

February 10th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Apoliisi mu distulikiti ye Mpigi ebakanye nomuyiggo ku mukazi, agambibwa okuzikula emirambo 5 najireka ku ngulu.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Katonga, Lydia Tumushabe agambye nti bino byabadde ku kyalo Busese A mu gombolola ye Nkozi.

Kitegezeddwa nti omukazi Aisha Kwagala okuva mu tawuni kanso ye Kyengera yabadde ayagala kusengula mirambo gino okujitwala okuzikibwa mu kifo ekirala.

Tumushabe agambye nti emirambo gino bajitutte ate oluvanyuma nebajikomyawo e Busese, wabula bajijeewo nebajitwala mu ddwaliro e Gombe.

Kati ono poliisi emwetaaga okuvunanibwa emisango gyokutataganya eddembe lyabafu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *