Amawulire

Omukazi asazeeko bbaawe amaka

Omukazi asazeeko bbaawe amaka

Ivan Ssenabulya

October 7th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Waliwo omukazi owemyaka 25 akwatiddwa nga kigambibwa nti yakidde bbaawe namusalako ebitundu bye kyama, ngamulanga obwenzi.

Omukwate mutuuze mu tauni kanso ye Namayingo, nga kigambibw anti yalumbye kabiite we Joseph Baraza namukolako obulabe buno.

Kati omubaka wa gavumenti e Nmayingo Sylvester Opira akakasizza bino, era nategeeza nga omukazi bweyakozesezza akambe okusalako baabwe amaka.

Kati omusajja addusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mbale gyafunira obujanjabi.

Omukazi kati awereddwayo mu mikono gya poliisi, ayebeko mu kunonyereza okukyagenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *