Amawulire

Omukazi asangiddwa mu nnyumba nga mufu

Omukazi asangiddwa mu nnyumba nga mufu

Ivan Ssenabulya

July 11th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Gwembuzi mu gombolola ye Bukoma mu disitulikiti ye Luuka, bwebagudde ku musajja ne mutabani we nga baliko kikuba ku mukono.

Bano basangiddwa mu nnyumba yaabwe, wabulanga omukazi yye yafudde dda, ngomulambo gugangalamye ku kitanda.

Ssentebbe we’kyalo Gwembuzi B, Richard Muzaale agambye nti omusajja ono ye Isiaih Muyanga ngomwana we atemera mu myaka 4.

Ono agambye nti balirwana be bebamubagulizaako, oluvanyuma lwokuwulira munda nga bayiritira atenga tewali ayanukula.

Ssentebbe ayise poliisi netuuka mu kifo, okuyamba nokutandika okunonyereza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *