Amawulire

Omukazi alumyeko baawe ebitundu byekyama

Omukazi alumyeko baawe ebitundu byekyama

Ivan Ssenabulya

March 18th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omukazi owemyaka 38 wetwogerera aliira ku nsiko, oluvanyuma lwokulumako bbaawe ebitundu byekyama.

Bino bibadde mu disitulikiti ye Bugweri, mu Buvanjuba bwe gwanga.

Omukazi nakampaate ayigibwa, mutuuza ku kyalo Mifumi mu tawuni kanso ye Idudi e Bugweri, nga kigambibwa nti obutakanya bwabwe obubaddewo okumala ebbanga, okuva omusajja lweyawasa omukazi omulala.

Ssentebbe we kyalo kino Jamil Suuna agambye nti omusajja abadd takyatera kukomawo waka ngabeera wa mukyala muto, wabula ku mulundi guno yabadde azze okulaba oluvanyuma lwokuwlira nti omwana mulwadde.

Yamulabirizza nga yebase namukkakanako, namuluma ngamulanga okumuteeka mu mbeera eyokulakkassira mu mukwano.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *