Amawulire

Omukazi alimbye bbaawe nti bawambye omwana

Omukazi alimbye bbaawe nti bawambye omwana

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi mu tawuni kanso ye Bugembe ekutte abakzi 2, nga kigambibwa nti balimbyelimbye ngomwana bweyawambiddwa, nekignedererwa okujja ssente mu kitaawe.

Omu ku bakwate ye maama womwana owomwaka 1 nga kigambibwa nti yakubidde kitaawe womwana Hamim Ssekabira omutuuze we Namwezi mu munispaali ye Njeru namulimba ngomwana bweyabadde awambiddwa.

Ssekabira yaloopye ku poliisi e Bugembe neyungula abampi nabawanvu abakulembeddwamu Sgt Peter Emurut, okunonyereza.

Eno omukazi bamusanze nomwana ate gwagamba nti yabula.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *