Amawulire

Omukazi afiridde mu loogi

Omukazi afiridde mu loogi

Ivan Ssenabulya

June 28th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omukazi owemyaka 40 asangiddwa nga yafiridde mu loogi, mu munispaali ye Njeru mu district ye Buikwe.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Ssezibwa Hellen Butoto, agambye nti omugenzi ye Elina Nalianzi ngabadde mutuuze ku kyalo Kisenyi A mu munispaali ye Busia.

Ono omulambo gwe gujiddwa amu Valley Inn esangibw aaku kyalo Wampala e Njeru.

Omukyala ono kigambibwa nti yapangisizza loogi bwomu, akakwungeezi kaayise wabula basanze mu mulambo.

Kati omulambo gutwaliddwa mu gwanika lye ddwaliro e Jinja okwongera okwekebejebwa ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *