Amawulire

Omukadde ow’emyaka 72 awerennemba nagwa bufere

Omukadde ow’emyaka 72 awerennemba nagwa bufere

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Namukadde owemyaka 72 agambibwa okwetaba mu bufere bwa zaabu, bamusindise ku alimanda mu kkomera.

Kino kyadiridde omusubuzi okuva mu disitulikiti ye Kakumiro-okuwa aobujulizi ku Mzee Sande, namulumiriza okumufera obukadde 120.

Eriasafu Mukiga, nga musubuzi yalabiseeko mu maaso gomulamuzi we’ddaala erisooka mu kooti e Makindye John Robert Okipi, nga yagambye nti Mzee ono yamulabira ku mukyala Gloria Tusiime bwebava ku kyalo kimu.

Yagambye nti yawa Muzei Sande ssente zino mu mpeke ngamusubizza okumuletera zaabu, ngagamba nti waliwo bannansi ba Congo abaali bagenda okumuleeta.

Agamba nti yaddamu namusaba ssente endala obukadde 80 okukola ku misolo, asobole okuyosaawo emaali ku nsalo, wabula byonna byebakanyako talina kyeyakola.

Oludda oluwaabi lugamba nti omusango yaguzza mu Okitobba 2020 mu bifo okwali Kibuye ne Buziga mu Kampala.

Kati omulamuzi alagidde omuvunanwa akomezebwewo mu kooti nga 28 May 2021.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *