Amawulire

Omujaasi bamulumirizza

Ali Mivule

April 22nd, 2013

No comments

Okot the killer

Omusango oguvunaanibwa omujaasi eyatta abantu 10 e Bombo gwongezeddwaayo okutuuka olunaku lw’enkya

Abajulizi bana beebareese obujuli okuli Ejan Poni, Lukia atima, Norah Alanya ne Sgt Godfrey Nyimarima.

Nyimarina agamba nti nga March 8 , 2013 , bwe yali e Bombo, yawulira amasasi agavuga n’adduka gye gaali gavugira n’asanga abantu nga bagudde wansi ku ttaka.

Munnamateeka w’oludda oluwaabi Fredrick Kagwamu yeeyasoose okutegeezezza kkooti nti Okot ono aliko mujaasi munne gwebali batalima kambugu lwakumuggulako misnago gyakukabasanya bujje

Ono yoomu ku beeyatta  Onesmus Aduri ne mukyala we eyali nanyini baala Maama jackie.

Okot avunaanibwa emisango omuli obutemu, okugezaako okutemula , okubbisa weryanyi n’okweyambisa obubi emmundu.

 

Okuwulira omusango kugenda mu maaso ku kalwaliro e Bombo okumpi n’ekifo omwattirwa abantu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *