Amawulire

Omugoba wa bodaboda afiiridde mu kabenje

Omugoba wa bodaboda afiiridde mu kabenje

Ivan Ssenabulya

December 1st, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu disitulikiti y’e Rubanda etandise okunonyereza ku kivirideko omugoba wa bodaboda okufiira mu kabenje akatabadeemu kidduka kirala.

Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate omugenzi ye Dismus Turyahebwa nga atemera mu gyobukulu nga 20 years omutuuze we Rutooma mu gombolola ye Kashenyi mu Rubanda disitulikiti.

Kigambibwa nti ono yalemeredwa okuweta ekoona pikipiki ye namba UES 062C ne mugwiira bwatyo nkalirawo bweyabadde adda mu kitundu kye Hamuko ekisangibwa mu disitulikiti yemu.

Maate atubuulidde nti omulambo gwono gutwaliddwa mu ddwaliro okwongera okwekebejebwa nga nokunonyereza bwekugenda mu maaso.