Amawulire

Omugenzi Kakiiza bamwejerezza okubba ez’obugaali

Omugenzi Kakiiza bamwejerezza okubba ez’obugaali

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti enkulu ewozesa abalyake nabakenuzi, yejerezza eyali Engineer mu minisitule yebyentambula Robert Kakiiza emisango gyenguzi ne vvulugu eyetobeka mu kugula obugaali bwaba ssentbbe be byalo mu 2012.

Kakiiza, nga bamulangirirra nti yafa emyaka 9 emabeg, omulamuzi Lawrence Gidudu oyamujeeko emisano 2 okuli ogwokukozesa obubi wofiisi nengui.

Oludda oluwaabi lubadde lugamba nti omugenzi, yoomu ku baalina okukakasa ebyalina okukolebwa mu buguzi bwe gaali era yetaba mu buterevu mu bulyake obwaliwo.

Obujulizi bulaga nti Kakiiza, ne bakamaba be John Kashaka, Sam Emorut Erongot nabalala baali batuula ku akakaiiko aka Evaluation Committee akalaina okukakasa obuguzi buno, obwawementa obuwumbi 4 nobukadde 200.

Bano balina okugula obugaali emitwalo 7, wabula tebwagulibwa olwa vulugu nobubi bwensimbi obwetobeka mu ntekateeka eno.

Kati ngojeeko Eng. Kakiiza, abasigadde abaali bavunanibwa mu musango guno baweebwa ebibonerezo okukola obusibe emyaka 10.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *