Amawulire

Omubaka we Bukanga, Gregory Matovu afudde

Ali Mivule

September 30th, 2013

No comments

BUkanga Mp

Omubaka akiikirira abantu be Bukanga mu lukiiko olukulu olw’eggwanga Gregory Matovu afudde

Ono afudde nkya ya leero mu ddwaliro lya Nakasero Hospital.

Ono kigambibwa okuba ng’afudde kokoolo w’emimiri aludde ng’amuluma.

Omwogezi wa palamenti, omukyala Hellen Kaweesa agamba nti kyannaku nti bafiriddwa omubaka omulala nga bakyaakungubagira ababaka abalala abaze bafa.

Omubaka ono abadde ava mu kibiina kya NRM abadde atuula ku kakiiko akakola ku nsonga za tekinologiya

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *