Amawulire

Omubaka wa jinja municipality East kooti emugobye mu palamenti.

Ivan Ssenabulya

January 12th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Kooti ejulirirwamu e gobye  abadde omubaka we Jinja municipality East Nathan Igeme Nabeta, nga ensonga zakubba kalulu.

Abalamuzi ba kooti eno okubadde Steven Kavuma, Richard Buteera ne  Paul Mugamba kati balagidde okulonda kuno kudibwemu.

Abalamuzi bano bagambye nti tebayinza kusinzira ku byava mu kulonda eby’obulimba okulangirira munne ey’amuwawabira Paul Mwiru nga omubaka, kale nga okulonda kwakudibwamu.

Bano banenyeza munaabwe owe Jinja  justice Lydia Mugambe  olw’okulangirira nga  Paul  Mwiru  bweyali agwana okufuuka omubaaka, kyoka nga tamaze kwetegereza nsonga zonna

Bano tebakomye awo bakyukidde n’akakiiko k’ebyokulonda nga bagamba nti kano kekategeka okulonda okwali kujudde emiwatwa egitagambika.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *