Amawulire

Omubaka wa China asibudde

Ivan Ssenabulya

March 26th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Abadde omubaka we gwanga lya China, Zheng Zhuqiang tenderezza nokusiima minisitule yensonga ze bweru we gwanga saako gavumenti ya kuno olwenkolagana ennungi, muobozesezza okuvaamu ebibala bwabadde akola emirimu gye.

Amb. Zheng amaze kuno emyaka 4, nga gyaweddeko agenda kusitula okudda ku butaka.

Buno bwebubaka bwawadde minisita omubeezi owensonga ze bweru we gwanga Henry Okello Oryem, bwabadde asibula.

Wabula awadde essuubi nti bwatunulamu, ebyamaguzi ebiva mu Uganda okwolekera egwanga lya China, bigenda kweyongera.

Kuno kuliko enva endiirwa, ennyama, ebyenyanja, kaawa ne mwanyi nebirala.

Yye minisita Okello Oryem ayongedde okweyama nga Uganda, okunyweza enkolagana wakati wamawanga gombi.

Asiimye China olwokuwagira Uganda obutakoowa, mu byenjigiriza, ebyobulamu, ebyokuzimba, ebyokwerinda nebirala.