Amawulire

Omubaka Gregory Matovu aziikibwa lwa kuna

Ali Mivule

September 30th, 2013

No comments

BUkanga Mp

Omulambo gw’omubaka abadde akiikirira abe Bukanga mu Lukiiko olukulu ow’eggwanga olunaku lwenkya lwegugenda okutwalibwa mu palamenti

Gregory Matovu afudde oluvanyuma lw’okumala akabanga ng’atawanyizibwa kokoolo w’emimiro

Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa, omugenzi agenda kusabirwa enkya ku eklezia katolika eya Yesu ye Kabaka nga tannatwalibwa ku palamenti ababaka bamukubeko eriiso evvanyuma.

Olweggulo, ababaka bakutuula ku Lukiiko olwenjawulo okusiima emirimu omugenzi gy’akoledde eggwanga nga tannatwalibwa mu maka ge e Bunga

Ono wakuziikibwa e Isingiro ku kyaalo Ngarama ku lunaku lw’okuna

Bbo babaka banne betwogeddeko nabo bagamba nti omugenz ddimu lya maanyi mu Lukiiko luno n’eggwanga okutwaliza awamu