Amawulire

Omubaka Betty Nambooze akwatiddwa.

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2018

No comments

Bya JESSICA SABANO.

Polisi amakya ga leero ekedde kukwata mubaka we Mukono Municipality Betty Nambooze nga ono bamulanga kubeera nakakwate kukutibwa kw’omubaka   we Arua Municipality Ibrahim Abiriga.

Nambooze agiddwa  mumakaage e Mukono, nga kino ekiwendo kikulembedwamu aduumira police ye Mukono Rogers Sseguya.

Ono asoose kukuumirwa wano ku polisi ya kampala road, kyoka oluvanyuma natwalibwa e Naggalaa

Police egamba nti  nga Abiriga tanattibwa ku lwokutaano,  Nambooze  nabalala basatu baliko obubaka bwebaateka ku mikutu eggya social media nga bawagira okuttibw akwa Abiriga.

Abalala abayiggibwa ye Raymond Soulfa, amanyiddwa nga Peng Peng, Nasser Mugerwa ne  Jane Kuli

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *