Amawulire

Olwaleero teri kusaba kwakiro

Olwaleero teri kusaba kwakiro

Ivan Ssenabulya

December 31st, 2020

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ekkanisa ya Uganda etegese okuasaba okwokuyingira omwaka, okwenjawulo era okutali kwabulijjo.

Okuva edda, ngennaku zomwezi 31 Decemba amasinzizo gabaddenga gategeka okusaba okwokuyita mu kiro okwekulina omwaka nokwaniriza omwaka omujja, wabula olwaleero tekigenda kusoboka eri abamu.

Kino kivudde ku mateeka agakugira abantu okukungaana mu bungi.

Bwabadde ayogera ne bannamwulire ku kitebbe kyobulabirizi e Namirembe, Ssabalabirizi we kkanisa ya Uganda Dr. Steven Kazimba Mugalu agambye nti tewagenda kuberawo kusaba okwawamu okusobola okugondera ebiragiro bya gavumenti, wabulanga bajja kusabira ku TV nezi Radio.

Mungeri yeemu Ssabalabirizi asabye abakiiko kebyokulonda okutegeka olukiiko olwenjawulo, obutasukka wiiki eno nabesimbyewo, okukaanya ku biragiro ebyayisiddwa mwebaweredde enkungaana zebyobufuzi mu disitulikitu enondobemu.

Disitulikiti eziri mu 16, kampeyini ezawamu gyezaganiddwa, wabula Ssabalabirizi asabye bakirizibwe okukuba kampeyini, mu kugoberera amateeka nebiragiro byabebyobulamu.

Kuno kuliko ebibuga Mbarara, Kampala ne disitulikiti ye Luwero, Kabale, Mukono, nendala.

Bino bijidde mu bubaka bwe obwomwaka, ngasinzidde ku kitebbe kyobulabirizi e Namirembe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *