Amawulire

Olwaleero mazalibwa ga kabaka age’66

Olwaleero mazalibwa ga kabaka age’66

Ivan Ssenabulya

April 13th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Obwakabaka bwa Buganda ne Uganda awamu, olwaleero bagasse okukuza a,mazalibwa gempologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II.

Gano gemazalibwa ge agemyaka 66 egyobuto, wabula emikolo gigenda kukwatibwa mungeri yanajwulo, ngabantu batono abayitiddwa okugyetabako mu lubiri e Mengo, okusinziira ku Kattikiro Charles Peter Mayiga.

Emikolo gino nate gitambulidde wansi womulwamwa gwokulwanyisa mukenenya.

Kabaka Mutebi yalondebwa ngomubaka wekitongole kya UNAIDs, okukulemberamu kawefube wokulwanyisa ssiriimu, mu kitundu kyamaserengeta nobuvanjuba bwa Africa.

Kabaka Muwenda Mutebi II, yazalibwa nga 13 April mu 1955, mu ddwaliro e Mulago.