Amawulire

Olwaleero lunnaku lwamaka

Olwaleero lunnaku lwamaka

Ivan Ssenabulya

May 14th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Uganda yegasse ku nsi yonna olwaleero, okukuza olunnaku lwamaka.

Mu bubaka obujidde ku lunnaku luno, gavumenti esabiddwa okuvaayo nenkola ezawamu ezirubiridde okunyweza amaka.

Bwabadde ayogerera ku mukolo ogukwatiddwa ministule yekikula kyabantu mu Kampala, Dr Siu Godfrey okuva mu kitongole kya Child Health and Development Centre ku ttendekero e Makerere, agambye nti muno musaana mujiremu okulambika okwenjawulo ku buvunanyizibwa bwaba maama nabazadde abalala, mu nkuza yabaana.

Ayogedde ku bifo ebikolerwamu okubeera nebifo ebyenjawulo ba maama webayonseza.

Uganda ekuzizza olunnaku luno olwa, International Family Day nga luvugidde ku mubala ” Covid-19 pandemic and the family: challenges, opportunities and lessons learnt” oba okusomozebwa okwakosa amaka nemikisa ekyajja nekitrwadde kya ssenyiga omukambwe.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *