Amawulire

Olwaleero lunnaku lwa mmere

Olwaleero lunnaku lwa mmere

Ivan Ssenabulya

October 16th, 2020

No comments

File Photo: Emmere ku masowani

Bya Juliet Nalogwa

Uganda olwaleero yegasse ku nsi yonna, okukuza olunnaku lwe mmere olwa world Food Day nomulangi eri gavumenti nabakwatibwako okuteeka ku mwanjo ebya technologiya mu byobulimi.

Antonio Querido, omubaka wekitongole kye mmere kuno, ekya UN Food and Agriculture Organisation agambye nti ekiseera kyomuggalo gwa covid-19 kisaanye kikozesebwe ngomukisa omunene okulima okumalawo ebbula lye mmere, nekulwebiseera ebijja.

Asabye abakugu ssekinoomu okuwangana amagezi mu nsonga ya technologiya, engeri gyeyinza okukozesebwa mu byobulimi.

Ku mulundi guno, olunnaku luno luvugidde ku mubaka “okulima emmere emala, era eyenjawulo eri abantu abeyongera buli olukya, okubezaawo ensi.

Emikolo gye gwanga emitongole gigenda kukwatibwa olwaleero, okuyita ku mitimbagano, wabula nga basinziira ku kitebbe kya minisitule yebyobulimi, obuvubi nobulunzi.