Amawulire

Olwaleero kusiiga evvu

Olwaleero kusiiga evvu

Ivan Ssenabulya

February 17th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Olwaleero lwerunnaku olwokusiiga evvu, oba Ash Wednesday oluggulawo ekisiibo eri abakulisitaayo.

Wabula olwaleero olunnaku luno lutukidde mu biseera byobulwadde bwa ssenyiog omukambwe covid-19.

Okusinziira ku Monsignor Gerard Kalumba, akulira kkereziya ya Christ the King mu Kampala, bagenda kukikola mungeri yanjawulo ku mulund iguno.

Agambye nti evvu bagenda kulimansira ku mitwe, okusobola okwewa amabanga agalagirwa abebyobulamu.

Abawereza ba Katonda bagenda kwambala gloves okwewala, okukwata obuterevu ku bantu.

Abantu 200 bebagenda okukirizibwa munda mu kkereziya, abalala bakusigala wabweru nga bagoberera ku mizindaalo.

Monsignor Kalumba sabye banna-Uganda obutagwamu ssuubi olwekirwadde kya ssenyiga omukambwe naye bakowoole Katonda.

Mu bubaka obujidde mu kiwandiiko okuva ku kitebbe kya kereziya Katulika e Vatican, balagidde evvu balimansire abagoberezi, namazzi agomukisa, mu kasirise.

Basabye nabantu bonna okwambala mask okusobola okwetangira ssenyiga omukambwe

Mungeri yeemu ekisiibo ekye nnaku 40 kitekeddwa okuleeta essuubi eri abantu ababadde bapondoose, nga banyigirizibwa.

Buno bwebubaka bwa Fr Deogratious Kiibi owekigo kya St Joseph mu disitulikiti ye Mpigi.

Fr kiibi agambye nti ekisiibo wekitukidde, nga banna-Uganda abasing baweddemu essuubi.

Agamba nti abasing bagwamu amaanyi oluvanyuma lwokulonda okwaliwo nga 14 January, nga nabamu bagamba nti bebalonda ssi beblangirira.

Wabula Fr Kiibi agamba nti okuyita mu kusaba, emitrima gyabwe gyakukakana.