Amawulire

Olwaleero Eid al-Adha ey’okusadaaka

Olwaleero Eid al-Adha ey’okusadaaka

Ivan Ssenabulya

July 20th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abasiraamu basabiddwa okusigala nga bakola enonno y’okusadaaka, okumala ennaku 4, ezitandise olwaleero.

Olwaleero Eid al-Adha, olunnaku oluggulawo okusadaaka ebisolo ebirungi era ebiramu, okujjukira ekikolwa kya Ibraham ekyobwetowaze bweyalaga obumalirivu eri Katonda okusadaaka mutabani we Ishmail.

Olunnaku luno lwerwekkumi 10 ku mwezi gwa Dhu al-Hijjah, asiraamu mwebakolera Hijjah ku kalenfa yobusiraamu, era ebikujjuko bimala ennaku 4

Bwabadde ayogerako naffe, omumyuka wa Muft wa Uganda owokubiri ku kitebbe kyomusiraamu Sheikh Ali Muhamadh Waisswa asabye abasiraamu okusadaaka, bayambe abali mu bwetaavu ate bewale okudibuuda enyama.

Kakati emizikiti gigenda kusigala nga miggale, olwebiragiro ebyalangirirwa gavumenti okutangira okusasaana kwa ssenyiga omukambwe.

Sheikh Waisswa agambye nti okusaba kugend kutegekebwa ku kasozi Kampala Mukadde, ku muzikiti omukulu okugenda okwetabwamu abantu abalondemu abatasukka 20.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *