Amawulire

Olusirika lwa NRM lugenda kutandika olwaleero

Olusirika lwa NRM lugenda kutandika olwaleero

Ivan Ssenabulya

April 8th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abekibiina kya NRM bayise omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga n’omumyuka we Jacob Oulanya okwetaba mu lusirika lwekibiina olugenda okutandika olwaleero.

Olunnaku lwe ggulo ekibiina kyakozesa okukebera ekirwadde kya senyiga omukambwe ku babaka baabwe bonna, nabakalondebwa abagenda okwetaba mu lusirika luno, ku banguliro lyebyobufuzi e Kyankwanzi.

Okusinziira ku akulira ebyamawulire ku gwandisizo lyekibiina kya NRM, Emmanuel Dombo ssinga banakirza okwetaba mu lusirika luno, buli mu ajja kwogera eri banakibiina bwomu era ku budde obwenjawulo.

Dombo agambye nti Kadaga wakulaga omulimu gwa palamenti mu kuwereza abantu atenga Oulanya, ajja kunyonyola ku kitiibwa kya palamenti.

Minisita owebyenjigiriza nemizannyo Janet Museveni naye asubirwa okwetaba mu lusirika luno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *