Amawulire

Olukiiko olwagoba meeya likyaamu

Ali Mivule

December 13th, 2013

No comments

Lukwago addresse media at home

Essiga eddamuzi litegezezza ng’ekiwandiiko  kya kooti ekyaali kiyimiriza olukiiko lwa bakansala olwagoba loodi Meeya bwekyali mu mateeka.

Essiga likakasizza kino mu bbaluwa gyebawandikidde ssabalungamya wa gavumenti mu nsonga z’amateeka nga 12 December 2013.

Omuwandiisi wa kooti ategezezza nti  ekiwandiiko kino bwekyafulumizibwa wakati w’essaawa  bbiri n’edakiika 45 n’ebbiri nedakiika 58 essaawa ezikkirizibwa mu mateeka okuweerayo ekiwandiiko nga kino.

Agamba enjuyi zombi okuli  ofiisi ya ssabawolereza wa gavumenti n’ekitongole kya KCCA zakiikirirwa banamateeka baabwe.

Kino kimazeewo okusika omuguwa ku maloboozi agagamba nti ekiragiro kikyaamu ate abalala nga bagamba nti kituufu.

 Mungeri yeemu omuloodi wa Kampala  Erias Lukwago ategese olukungana lwe bekikwatako bonna okulaba kiki kyebazzaako wiiki ejja.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu makage e Wakaliga, loodi meeya ategezezza nti wakuyita ababaka ba palamenti okuva mu kampala n’emirirano, ba meeya bazi division, ba kansala, abakulira eby’entambula wano mu kampala n’obutale nga kwogasse nabalala bangi  okuteesa ku kiddako.