Amawulire

Olukiiko lwa taxi lugenda mu maaso

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

Frank Tumwebaze

Oluvanyuma lwabavuzi ba taxi okumala akabanga nga bemulugunya ku basirikale ba poliisi n’ebizibu ebirala, Minister wa Kampala Frank Tumwbaze ayise olukiiko bateese ku nsonga ez’enjawulo bazinogere eddagala.

Omubaka wa Makindye eyobuvanjuba gyebuvuddeko yakwanga minister ekiwandiiko ku kwemulugunya kwaba taxi bano nga bawakanya empooza eyitiridde eri KCCA saako n’ebigambibwa nti batulugunyizibwa.

Sentebe w’ekibiina ekigatta badereeva nebakondakita ekya DAK Mustafa Mayambala agamba kino bulijjo kyebalinze okweyabya ku bizze bibalemesa okukola obulungi emirimu gyaabwe.