Amawulire

Oluguudo lwa Kampala -Hoima lwakugaziyizibwa.

Oluguudo lwa Kampala -Hoima lwakugaziyizibwa.

Ivan Ssenabulya

December 6th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba.

Government etegeezeza nga bwetekateeka  okugaziya oluguudo lwe Hoima nga yetegekera okusima amafuta okusuubirwa okusikiriza abantu abangi okugenda mu kitundu kino.

Bino bigidde mukadde nga abantu abamanyi okutega ensimbi batandise okwesogga ekitundu kino , songa n’emotoka ezikozesa oluguudo luno zeyongedde.

Minister omubeezi akola ku by’enguudo Aggrey Bagiire, agamba nti abakugu mu by’enguudo bagamba nti emotoka ezigenda okukozesa oluguudo luno zaakweyongera, kale nga lwetaga kwongeza ku bunene.

Kati ono agamba nti abakola ebipimo batandise, songa n’ensimbi akadde kona zakulabika.