Amawulire

Okwogera Kwo’mukulembeze we’gwanga kuasubirwa olwaleero

Okwogera Kwo’mukulembeze we’gwanga kuasubirwa olwaleero

Ivan Ssenabulya

June 4th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, Juliet Nalwooga ne Ndhaye Moses

Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni olwaleero assubirwa okwogera eri egwang mu kogera kwe okuggulawo buli mwaka gwabyansimbi, oba State of Nation Address.

Kati asubirwa okulaga mbeera yebyenfuna nensonga endala saako entekateeka zebagenda okusimbako amannyo mu mwaka gwebyensimbi 2021/22.

Kino kirambikiddwa mu nnyingo eye 101 (1) mu ssemateeka we’gwanga.

Okwogera kw’omukulembeze we’gwanga, kwekugobererwa okusoma embalirira ye’gwanga.

Bino webijidde nga Uganda era eri mu kattu, mu muyaga ogwokubiri ogwekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Kati omusasi waffe, atuseeko mu bantu babulijjo nebawa endowooza zaabwe.

Ate ab’oludda oluvuganya gavumenti mu kibiina kya National Unity Platform, babanja nti omukulembeze we’gwanga alage engeri abantu abafa nokukosebwa mu bwegugungo bwa Novemba omwaka oguwedde, gyebagenda okufuna obwenkanya.

Ensonga endala zebagala asimbeko amannyo kyekitta bantu, nekiwamba bawagizi baabwe bagamba nti bangi nokutuusa olwaleero abatamanyikiddwako mayitire.

Omwogezi wa NUP ye Joel Ssenyonyi, yakoze okusaba kuno

Mungeri yeemu, omubaka wa Nakawa West Joel Ssenyonyi asabye nti omukulembeze we’gwanga ayogere ngasinziira ku mutimbagano.

Kino agambye nti kyekijja okutaasa ku nismbi zomuwi womusolo ezikozesebwa okukebera abantu COVID-19 ne’miteeru gyebayitamu buli lwebetaba mu nsisinknao nga zino ezirmu omukulembeze we’gwanga.

Ono agamba nti kisoboka nasinziira mu maka gobwa pulezidenti kwogera eri egwanga.

Ate ebitongole byobwanakyewa, binokoddeyo ensonga okuli ebyobwerinda nobuli bwenguzi nti omukulembeze w’egwanga zaba atekakao essira okulaga engeri gavumenti ye, gyegenda okuzikwatamu.

Okusba kuno kukoleddwa, ssenkulu wekitongole ekirondoola ensasanye yensimbi n’embalirira Civil Society Budget Advocacy Group Julius Mukunda ngagambye nti nemu kiseera kino ekya ssenyiga omukambwe, egwanga lyetaaga okumanya mu kwogera kwe bwebigenda okukwatibwamu.

Agambye nti ssenyiga omukambwe yakosa ebyenfuna bye’gwanga naye gavumenti eria okutema empenda okuzza ebyenfuna engulu, nensonga endala.