Amawulire

Okwebuuza kubya ssemateeka wa EAC kutandise mu Uganda

Okwebuuza kubya ssemateeka wa EAC kutandise mu Uganda

Ivan Ssenabulya

April 21st, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Okwebuuza ku bantu abakwatibwako, wakati mu ntekateeka z’okubaga ssemateeka w’omukago gwa East African Community, kutandise olwaleero.

Okwebuuza kuno kwakugenda mu maaso okutukira ddala nga 4 May ku ntandikw ayomwezi ogujja.

Bino bijidde mu kiwandiiko minisita we’nsonga za East African Community kyafulumizza, ngagambye nti ekibinja kyabakungu abalondebwa mu kwebuuza kuno bagenda kusisinkana abantu abenjawulo.

Akolanga kamisona ku nsonga zebyobukulembeze mu minisitule ya EAC, Joseph Ssembatya agambye nti kino kyakanyizbwako mu ttabameruka wabakulembeze bamawanga mu mukago guno, eyatuula mu May wa 2017.

Wabula agambye nti okwebuuza kuno kwatandikidde mu gwanga lya Burundi nga kati amakanda bagenda kugateeka mu Uganda, oluvanyuma baakugenda nemu mawanga amalala.

Baakusisinkana abakuelmbeze mu disitulikiti okuli Kabale, Mbarara, Mbale, Gulu, Arua ne Kampala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *