Amawulire

Okuwulira okusaba kwa Bobi okuleeta obujulizi obulala kwa leero

Okuwulira okusaba kwa Bobi okuleeta obujulizi obulala kwa leero

Ivan Ssenabulya

February 19th, 2021

No comments

Bya Anthony Wesaka

Kooti ensukulumu olwaleero egenda kuwlira okusaba kwa Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine, mwayagalira bamwongere olunnaku olulala alumu okwongra okuleeta obujulizi bwe obwali bugobeddwa.

Kyagulanyi yaddukira mu kootti okuwakanya ebyava mu kulonda kwa bonna, okwaliwo nga 14 Janauary ebyateeka Yoweri Museveni mu buwanguzi okukulembera Uganda ekisanja ekyomukaaga.

Olunnaku lwe ggulo kooti yalaze nti okusaba kwa Kyagulanyi kugenda kuwulirwa olwaleero, ngenjuuyi zombie batekeddwa okuberawo.

Ku lunnaku Lwokusattu, Kyagulanyi akulembera ekibiina kya National Unity Platform yagenda mu kooti nasaba bamukirize aleete obujulizi bwe obulala 127 bwebaali bagobye nga balumiriza nti bwatuuka kikerezi.

Okuyita mu bannamateeka be, agamba nti obujulizi bwe buno, kuliko obuli mu buwandiike, obutambi, ebifananyi, namaloboozi, bukulu nnyo eri kooti mu kuwulira omusango guno nokulaga ebikolwa ebimeneya amateeka byayogerako ebyetobeka mu kulonda okwaliwo nga 14 January.

Kyaglanyi yeyakwatira ekibiina kya NUP bendera, wabula akakiiko kebyokulonda kalangirirra nti yakwata ekifo kyakubiri nga yafuna 35% atenga Museveni yawangulira ku 58%.

Yye Kyagulanyi agamba nti okulonda tekwagoberera mateeka, atenga kwetobeka bikolwa bingi okwali okubba akalaulu n’okutisatiisa abalonzi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *