Amawulire

Okuwandiisa piki

Ali Mivule

October 10th, 2013

No comments

bodabodas

Olwaleero ekitongole kya KCCA  kitandise okuwandisa bodaboda mu kampala.

Omukwanaganya w’enteekateeka eno  Robert Kalumba atutegeezeza nti buli kimu kitambudde obulungi ,era nga mpaawo kavuyo konna kabaddewo mu bifo 24 ebyatereddwawo okuwandiisibwamu boda zino.

Mu bifo muno mwemuli ku ddwaliro lye  Kyanja, ku kitebe ky’egombolola ye Nakawa, ne ofiisi zamagombolola ga KCCA gonna.

 

Kinajjukirwa nti bano akawungeezi akayise bakkiriziganyizza ne KCCA mu kuwandiisa  bodaboda zino, oluvanyuma lw’okubaako enkyukakyuka zebakola mu biwandiiko byebakozesa mu kuwandiisa

Poliisi etutegeezeza nti okutwalira awamu mpaawo kavuyo konna kebaafunye,newankubadde nga babadde batadde abaserikale baabwe mubifo ebyenjawulo.