Amawulire

Okuwandiisa amasimu kwongezeddwaayo

Ali Mivule

March 1st, 2013

No comments

simcard registration

Akakiiko akakola ku byempuliziganya kongezezzaayo nsalessale ku kuwandiisa amasimu okutuusa nga 31st ogw’okutaano.

 

akulira akakiiko kano, Godfrey Mutabaazi agamba nti abantu bawereddwa emyezi emilala esatu okwewandiisa ate nga ne kkampuni z’amasimu zakwongerwa omwezi gumu okwetegereza ebibawereddwa

 

Mutabaazi agamba nti basazeewo okwongezaayo oluvanyuma lw’okufuan owkemulugunya nti abantu abawera babadde tebannaba kwewandiisa naddala mu byaalo abantu gyebatalina identity kaadi.

Ono alabudde abawandiisa n’aba LC okukoma okusaba abantu ssente ng’agamba nti okwewandiisa kwa bwereere.