Amawulire

Okuvumira ku yintaneeti kikyamu

Okuvumira ku yintaneeti kikyamu

Ivan Ssenabulya

September 5th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omuvubuka omu ku bavubuka 3 yali avumiddwako ku mutimbagano gya yintaneti.

Bino byajidde mu alipoota aba Unicef gyebafulumizza, ngera eraga nti, omuvubuka omu ku 5 yanyingirizibwa mu mbeera eno, natuuka nokukosebwa mu kusoma.

Ssenkulu wekitongole kino Henrietta Fore mu kufulumya alipoota eno, agambye nti waliwo obwetaavu okukuuma abavubuka, ku mitimbagano.

Mungeri yeemu okunonyereza okwenjawulo era kwakolebwa mu Uganda, nga 30 August nekulaga nti 40% nabo bakosebwa.

Abavubuka 4,057 okuyita mu nkola eya U-Report wakati wemyaka 15 ne 24 bategezezza nti baali bavumiddwako ku yintaneti.

Abibalo era byaraze nti 61% basing ku kunyigirizibwa ku mukutu muyunga bantu, naddala ku facebook.

Okunonyereza kuno kwakolebwa nga mu mawanga ga Africa 30.