Amawulire

Okutulugunya bannamawulire kweyongedde

Okutulugunya bannamawulire kweyongedde

Ivan Ssenabulya

April 1st, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Alipoota ekwata ku ddembe lyabannamwulire eyomwaka 2020 eraze nti wabaddewo okweyongera mu bikolwa ebityoboola, eddembe lyamawulire mu gwanga.

Bwabadde afulumya alipoota eno, ssenkulu wekitongole ekirera eddembe lyabanamwulire Human Rights Network for Journalists Robert Ssempala agambye nti bafuna emisango 174 omwaka oguwedde, nge gyekuusa ku kutulugunya nokuyisa obubi bannamawulire.

Agambye nti wabaddewo okweyongera okuva ku misango 165 nga bwegwali mu mwaka ogfwayita, nga poliisi yakutte ekifo kya kisooka.

Emisango 174 gyafunise nga gyetololera ku basirikale 104.

Agambye nti bannamwulire 71 bebakosebwa ngabamu bakuba abiekonde, nokubagalira mu bukyamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *