Amawulire

Okutulugunya Abasibe: Palamenti erabudde DPP

Okutulugunya Abasibe: Palamenti erabudde DPP

Ivan Ssenabulya

April 11th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Palamenti erabudde wofiisi ya Ssabawaabi wa gavumenti ku kyokutwalanga abantu mu kooti, nga baleenya nebiwundu oluvanyuma lwokubatulugunya.

Ssentebbe owakakiiko ka palamenti akamateeka, omubaka owa West Budama South Jacob Oboth Oboth agambye nti kikyamu okulaba abantu bano embeera gyebabereamu, DPP nagenda mu maaso nemisango gyabwe nga tebasobola na kuyimirirra mu kaguli.

Agambye nti ekisaanye okukolewa kwekuwa abantu abali mu mbeera eyo, akakalu okweyimirirwa.

Awabudde nti bwandibadde era buvunayizibwa bwa Ssaabawaabi okukakasa nti abantu abali mu mbeera embi afile zaabwe tebazongerayo mu kooti, naye baziyimiriza.

Kati mu kwanukula Ssabawaabi wa gavumenti Jane Frances Abodo agambye nti oluusi nabo tebamanya mbeera abavunanwa gyebalimu, babekangira mu kooti.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *