Amawulire

Okusaba kwa Nyanzi kugobedwa

Okusaba kwa Nyanzi kugobedwa

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Philip Odoki agaanye okusaba kwa Fred Nyanzi Ssentamu mwayagalira okuwa okwemulugunyakwe mu musango gwe byokulonda, omubaka wa Kampala central omulonde Muhammad Nsereko okuyita mu mpapula za mawulire.

Nyanzi agamba nti yalemererwa okuzuula Nsereko waali okusobola okumuwa kopi ku mpabaye nga kati ayagala kugiyisa mu mpapula za mawulire

Wabula omulamuzi ategezeza nti Nyanzi aremeredwa okulaga obujjulizi obulaga nti tamanyi wayinza kusanga Nsereko

Nyanzi yaddukira mu kkooti nga ayagala obuwanguzi bwa Nsereko busazibwemu oba wabeewo okudamu okubala akalulu nga agamba nti yabba akaluluke mu kulonda okwaliwo mu mwezi gwa gatonya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *