Amawulire

Okusaba kwa Kyagulanyi kugobeddwa omulundi ogwo 2

Okusaba kwa Kyagulanyi kugobeddwa omulundi ogwo 2

Ivan Ssenabulya

February 19th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ensukulumu omulundi ogwokubiri egaanye okusaba kwa kulira ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi aka Bobi wine mwabadde ayagalira ayongerweyo akadde ka lunaku lumu aleete obujjulizi obulala obusoba mu 200 mu musango  mwawakanyiza obuwanguzi bwa Pulezidenti M7 mu kulonda okwaliwo omwezi oguwedde.

Kino kidiridde akawungeezi ka leero enjuyi zombi okuwaaya okusaba kwabwe mu bujjuvu.

Bannamateeka ba kyagulanyi basiitanye okumatiza abalamuzi okukkiriza baweebwe akadde baleete obujjulizi obulala mu musango guno naye nga buterere.

Museveni, okuyita mu munnamateekaawe Kiryowa Kiwanuka asabye kkooti egobe okusaba kwa Kyagulanyi okwokuleeta obujjulizi obulala nga agamba nti ayiiyabuyiiye eranga bwabulimba era nga ayagala kulwisa musango guno.

Kiryowa agambye nti bannamateeka ba Kyagulanyi balemererwa okuwaayo obujjulizi mu budde nga bwebalagirwa

Mungeri yemu anákakiiko ke byokulonda kasabye okusaba kwa Kyagulanyi kugobye kuba tekwaleetebwa mu mutima mulungi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *