Amawulire

Okusaba kwa Gen Tumukunde kugobeddwa

Okusaba kwa Gen Tumukunde kugobeddwa

Ivan Ssenabulya

September 15th, 2020

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti enkulu mu kampala egobye okusaba kwa Rtd Lt. Gen Henry Tumukunde eyegwanyiza entebe eyobwa pulezidenti mweyali ayagalira kkooti eyimirize poliisi okumuyitanga entatera nókumutiisatiisa okumukwata.

Omulamuzi Musa Ssekaana

Agambye nti Gen Tumukunde yalina bujjulizi bukwatikako obulaga nti poliisi nákulira ekitongole kya bambega Grace Akullo balina engeri gye balinyiriramu eddembe lye

Era omulamuzi omusango agugobye era nategeeza nti Gen Tumukunde alina okuliyirira Akullo ne poliisi olwókubakuba mu mbuga awatali bujjulizi

Tumukunde okuyita mu munnamateekawe Anthony Wameeli nga 24th/August yaddukira mu kkooti nga ayagala eyimirize okumuyita entatera okweyanjula ku poliisi ku misangosango egitategerekeka.