Amawulire

Okunoonya akalulu e Jinja East kugaddwa, Besigye awera

Ivan Ssenabulya

March 13th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Okunoonya akalulu, ka Jinja East akokuddibwamu kugaddwawo akakwungeezi kano.

Bano kati betegekera kulonda okubindabinda .

Ebimu ku bibaddewo, omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni asabye okulonda abakulembeze, abanawagira enkulakulana ye gwanga.

Presidenti Museveni abadde ayogerera mu lukungaana, okunoonaya akulu ka Nathan Igem Nabeta agambye nti yetaaga ababaka abanalonda okuyisaawo entakteeka za gavumenti, newabkubadde bayinza obutaba balungi mu kuteesa.

Ategezeza nti ekizibu kyasanze bebaoludda oluvuganya gavumenti, abasimbira ekkuuli entakteeka ze.

Wano ayogedde ku bimu ku bikoleddwa gavumenti ye okuli okuzimba enguudo nebiralala ebisitudde ebyenfuna bye gwanga.

Ate munna FDC Dr. Kiiza Besigye asabye bana-Uganda okubeera obumu, lwebanasobola okulwanyisa gavumenti ya NRM okujijja mu buyinnza

Besigye abadde akubira Paul Mwiru campaign akutte bendera yekibiina, mu kulonda kuno okwokuddibwamu, okwa Jinja East, olukungaana olubadde mu Busoga Square.

Besigye agambye nti ebyenfuna ebigudde mu Uganda kabonero aka gavumenti enkoowu, kalenga abantu basigale bumu era betekere enkyukakyuka.

Mungeri eyenjawulo Besigye atenderezza omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobie Wine, bwagambye nti yye takyayogera bingi naye Bobi yamusingako abamu kyebatunulidde ngokumutekatekera ebyomumaaso.

Eno bangi ku bavuganya gavumenti okuli Lordmayor wa Kampala Erias Lukwago, Bobi Wine, omubaka wa munispaali eye Kiira Ibrahim Ssemujju Nganda nabalala basabidde Mwiru akalulu.

Okulonda kwa Jinja East kwakudibwamu nga 15 ku lwokuna lwa wiiki eno.

Kino kyadirira kooti okusazaamu okulondebwamu kwomubaka Igem Nabeta olwokubba obululu.