Amawulire

Okumanyisa abantu ku yinsuwa mu Uganda kukyabulamu

Okumanyisa abantu ku yinsuwa mu Uganda kukyabulamu

Ivan Ssenabulya

October 17th, 2018

No comments

Bya Ndaye Moses

Abamakampuni ga yinsuwa mu Uganda bagamba nti okumanyisa abantu ku mirimu gyabwe kukyabulamu, nga kusomozebwa gyebali.

Chief Financial officer ku UAP insurance, Allen Kyambadde agamba nti buli mwaka banan-Uganda akakadde 1 nekitundu 5 batambula okugenda emitala wamayanja mu mwanga agenjawulo okwetoola ensi, mu byobusubuzi wabulanga emitwalo 5 bokka bebasasula yinsuwa okwetangira ebigwa nga tebabyetegekedde.

Kati alaze obukulu bwokwongera okumanyis abantu babulijjo ku migaso gya yinsuwa.

Ebibalo biraga nti Uganda yekyakwebera mubya yinsuwa mu East Africa, tweza yadde 1%.

Kenya yekulembedde ku 3.4%, Tanzania, 2.3%, Rwanda 1%.