Amawulire

Okulwanyisa abatujju kugenze mu masomero

Ali Mivule

October 22nd, 2013

No comments

Kaweesi

Mu kawefube w’okulwanyisa obutujju, amasomero g’omu kampala gonna galagiddwa okutekawo obuuma obukebera ku buli mulyango oguyingira nga n’abazadde bakukeberebwa nga tebanayingira masomero gano.

Mu buufu bwebumu abasomesa era basabiddwa okubulira abayizi beebasomesa okubeera obulindaala n’okuteekawo ebibiina ebijja okutendekebwa mu kulwanyisa obutujju.

Omuduumizi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi agamba kino kigendereddwaamu kutaasa abayizi bano nga bali ku masomero obulumbaganyi bw’obutujju.

Kaweesi agamba amasomero gatunuliddwa nyo abatujju kale nga kyetaagisa okukuuma abayizi.

Poliisi enywezezza eby’okwerinda okwetolola eggwanga lyonna oluvanyuma lw’ekitebe kya Amerika kuno okulabula nga abatujju bwebayinza okulumba essaawa yonna.